Skip to content

Muteeke ensimbi mu biganyula abavubuka – UPC

  • by



Ekibiina ky’ebyobufuzi ki Uganda People’s Congress –UPC kyagala gavumenti eteeke ensimbi mu bintu eby’enkizo ebiganyula abavubuka n’okukyusa embeera z’abantu.

Wakati mu keeterekerero ak’okujaguza olunaku lw’ensi yonna olw’abavubuka ku Monday
12th August, 2024, aba UPC bagamba nti ebyavudde mu kubala
abantu okw’eggwanga byoleka nti abavubuka bebasinga obungi nga n’olwekyo
embalirira y’eggwanga erina okutunuulira ebyo ebibagasa omuli ebyenjigiriza, kwossa
sayansi ne

technology
ebiwa abavubuka obukugu okubaako byebakola.


Faizo
Muzeeyi owebyamawulire mu UPC agamba nti okukyusa embeera z’abavubuka kikulu
eri obutebenkevu bw’eggwanga.