Skip to content

NUP basiimye poliisi n’amagye

  • by

Ekibiina ki NUP kisiimye Police n’amagye, olw’okukuuma empisa mu nkungaana ze baakubye olunaku lw’eggulo.
NUP mu nkungaana ezikunga obuwagizi n’okuwandiisa ba memba, eggulo baabadde e Ishaka Bushenyi, era tewabadde bukuubagano bwonna.
Omwogezi wa  NUP  era nga y’akulira abavuganya gavumenti Joel Sennyonyi, agambye nti kino  kye baludde nga basaba Police, bweba eyagala emirembe mu nkungaana, ekozese olungaana lw’eggulo ng’essomo.
Leero boolekedde Ntungamo.

Ebyo nga bizze ku bbali,oludda oluvuganya gavumenti lubuusa-buusa oba nga gavumenti enasobola okussa munkola eky’okukugira okumansa ssente mu kakuyege.
Ekiteeso kino kyalabikidde mu byateeseddwako mu lusirika lw’abakulembeze olwabadde e Kyankwanzi nga bategeka okuleeta eteeka erirunganya omuwendo gwa ssente munnabyabufuzi ssekinoomu z’ayinza okussa mu kakuyege.
Wabula akulira abavuganya gavumenti Joel Sennyonyi agambye nti tekiyinza kuyita olwokuba NRM esinga ababaka abanji ate y’eganyulwa mu mbeera y’okukozesa ssente mu kakuyege.


Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *