Abantu 8 bagombedwamu obwala lwakukuma muliro mu bantu n’okwonona emotoka ya polisi e Kasokoso mu gombolola ye Namugongo mu Kiira Munciplaity ,Wakiso District,
Abakwatidwa bamu kubantu abangi okuva ku byalo 12 mu Kira Municiplaity ababadde bayitidwa omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Semujju Nganda kunsonga z’ekitongole kya NEMA okubasengula muntobazi gye bagambibwa okuba nti bazimba .
Wabadewo akasatiro mulukuŋŋana luno olwetabidwaamu abakuleembeze abalonde okuva e Kampala ne Wakiso okubadde Lord Mayor Erias Lukwago n’abakiise ba palamenti okukakkana nga omubaka wa Kira Municipality Ssemuju Ibrahim Nganda, Police emukutte okumala akaseera wabula oluvanyuma n’emuta.
Bano ababadde bakuŋŋanidde e Kasokoso Resort polisi ebagumbuludde nga egamba nti olukuŋŋana lwebakubye lubadde lumenya amateeka.