Akulira ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu, ayogedde ku nguzi eyitiridde mu gwanga n’agamba nti kabonero akalaga nti egwanga lyetaaga enkyukakyuka mu bukulembeze.
Kyagulanyi agamba nti entekateeka y’okukyuusa obukulembeze tesaanye kulekerwa bantu balubatu wabula buli muntu eyettanira enkyukakyuuka.
Bino abyogeredde Rukungiri muntekateeka y’ekibiina okukunga obuwagizi n’okuwandiisa bamemba abapya.