Omuwandisi omukulu mu ministry y’eby’obusuubuzi, amakolero n’obwegassi Geraldine Ssali asiimbidwa mu kooti y’abalyake ku bigambibwa nti yenyigira mu kubulankanya obuwumbi 164 ezali ez’okuliyirira ebibiina by’obwegassi ebyafirizibwa ebyabwe mu lutalo .
Ssali kati agatidwa kubabaka ba palamenti okuli Micheal Mawanda , Mudimi Womakuyu ne Paul Akamba nabo abavunaanibwa ku misango gyegimu.
Ssali era yalabikira mu alipoota y’akakiiko ka palamenti ak’ebyobusuubuzi bweyagabira abantu abatalina kufuna nsimbi zino.
Kigambibwa nti Ssali yagabira ekibiina ky’obwegassi ki Bwavu Mpologoma Cooperatives obuwumbi bwa sente bwe bali tebateekedwa kufuna n’ekigendererwa ekya mwami we okufuna ku nsimbi zino.
Ssali alabiseko mu maso g’omulamuzi mu kooti ya balyake Aciro Joan .
Oludda oluwaabi nga lukulembedwaamu Edward Muhumuza lutegezezza kooti nti oluvanyuma lw’ababaka okugatibwaako Geraldine Ssali entekateeka zabwe ez’okweyimirirwa kati zizeemu omukoosi.
Omulamuzi alagidde Ssali adizibweyo ku polisi okutuuka olunaku lwenkya lwanakomezebwawo mu kooti okwanukula ku misango egimugudwaako.