Minisita w’ensonga za Kampala Minsa Kabanda ageteegezezza abasuubuzi nga President bw’atannaba kugaana kubasisinkana.
Abasuubuzi baalangiridde okuggala amaduuka, nga balaga obutali bumativu olwa President okusazaamu olusisinkano lweyabadde alina okubeera nabo ku ntandikwa y’omwezi guno..
Minisita kabanda agamba nti kino kya bulimba, kubanga ensonga yabadde ya kisaawe kya Kololo ekiri mu kudaabirizibwa, era abasuubuzi basabiddwa okufunayo ekifo ekirala.
Abasabye nti baleme kussa mukulu ku bunkenke, kubanga waliwo binji byebakoze ku nsonga zabwe.
We bukeeredde nga abasuubuzi olwaleero balabise okuwulira omulanga gwa bakulembeze babwe ogw’akediimo, era nga manji ku maduuka gabadde maggale.