Bannayuganda abawerera ddala ebitundu 13% bebatalina kyebamanyi ku ddembe lyabwe okukuuma ebiboogerako ebiba bibaggyiddwako mu mbeera yonna ekibateeka mu katyabaga, nga n’ekiva mu kino kwe kukozesebwa obubi bannakigwanyizi.
Kino kye kiviiriddeko abatakabanira eddembe ly’ebikwata ku bannayuganda nga biyisibwa ku byuma bikalimagezi mu kitongole kyabwe ki Personal Data Protection, okukubiriza abantu bonna okubeera abeegendereza ku nkozesa y’ebibakwatako okuli ennamba z’endagamuntu– NIN n’ebirala.
Akulira okussa mu nkola n’okunonyereza ku biwandiiko mu kitongole kino ki Personal Data Protection Baker Birikujja ategeezezza nti ebitongole bya Government ebitundu 80% birowooza nti etteeka lya Data Protection and Privacy teribakwatako ky’agamab nti kikyamu.