Skip to content

Abasawo abakyaayiga balumbye ministry y’ebyobulamu

Waliwo abasawo abakyaayiga, abalumbye ministry y’ebyobulamu ga bajivunana abutabasindika mu malwaliro okugezesebwa.

Sabiiti ewedde ministry yalangiridde nti esindiseeko kimu kya kubiri ku basawo abatendekeddwa omwaka oguwedde.

Bano bagamba nti kiri mu mateeka gavumenti okuwa abasawo omukisa okugezesebwa, kati baagala esibwe ku nninga etuuse obuvunanyizibwa buno.

 Zedekiya Ssekyondwa y’omu ku bakulembeddemu banabwe mu kwekalakasa kuno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *