Skip to content

Tayebwa ayise ensisinkano ku bya Ssenyonyi

  • by

Amyuka Speaker wa palamenti Thomas Tayebwa ayise ensisinkano y’abakulira palamenti okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezanjuddwa akulira oludda oluwabuzi mu palamenti Joel Ssenyonyi ku byekuusa ku nzirukanya y’emirimu mu lukiiko lw’eggwanga olukulu.

Kidiridde Ssenyonyi okutegeeza nti tayitibwa mu ntuula z’akakiiko akaddukanya emirimu gya palamenti aka Parliamentary Commission, ate nga kano kekasalawo ku nsonga zonna ez’ekuusa ku ntambuza y’emirimu mu palamenti olwo n’ategeezebwa luvannyuma.

Ssenyonyi, anokoddeyo ebbaluwa speaker gy’amuwandiikidde ng’amusaba akunge ababaka b’oludda oluwabuzi babeeyo mu ntula za palamenti ezigenda okubeera mu kibuga Gulu yadde ng’ebisingawo ebikwata ku ntuula ekika kino tabimanyi kubanga baamuleka bbali mu kuzitegekeka.

Ssenyonyi era asabye ababaka abava mu bukiikakkono bw’eggwanga abamutabukidde olw’aboludda oluvuganya okuzira entuula ezinabeera e Gulu nti ensonga zino baziggyemu obusosoze obw’engeri zonna.

Ssenyonyi agamba nti singa ababaka bano bafaayo ku bwavu obuli mu bitundu byabwe, bandiwagidde ekiteeso ky’oludda oluwabuzi ku nsimbi obuwumbi obutaano ezinasasaana mu ntuula za zino ne zikolwamu ebirala ebisitula embeera z’abantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *