Skip to content

Ab’oludda oluwabuzi baguddewo ekitabo

  • by


Ab’oludda oluwabuzi mu palamenti bagguddewo ekitabo kyebatuumye
ekimyufu-Red Book olw’okukungaanya amannya g’abawagizi abazze baggalirwa mu bifo ebyenjawulo okwetoloola eggwanga lyonna.


Minister mu gavumenti empabuzi atwala ensonga z’omunda mu ggwanga Betty Nambooze agambye nti akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yeyalagidde amannya gano gakunganyizibwe nga bwebasalawo kyebazzaako.


Nambooze agamab nti yalagiddwa okutalaaga amakomera gonna mu ggwanga
agagambibwa okubaamu abawagizi b’oludda oluvuganya era anoonyereze ne kubigambibwa nti abamu ku basibe bano bakolwako ebya sodoma.


Nambooze ategeezezza nga bwawandiikidde minister w’ensonga z’omunda mu ggwanga Kahinda Otafire akolagane naye mu kunoonyereza kuno kubanga kwa nkizo eri eggwanga.



Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *