Okuwozesa ababaka ba paalamenti abavunanibwa
egy’okulya enguzi kuyimiriziddwa,
okutuusa nga okusaba kw’omu ku bavunanibwa kuwuliddwa.
Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Lawrence Gidudu, ategeezeza bwe yafunye okusaba
okuva eri omubaka Paul Akamba (omu ku bavunanibwa), nga yagala
ensonga y’okutyoboola eddembe lye sooke ewulirwe.
Akamba alumiriza nti bwe yakwatibwa, yalumizibwa,
nasibirwa mu bifo ebimenya
amateeka, gya basinziira okumutulugunya eddembe lye ery’obuntu ne lityoboolwa.
Ayagala kooti esinziire kuno okugoba emisango gyonna ejimuvunanibwa.
Omulamuzi asinzidde kuno okusalawo nti ensonga
zonna ziyimirire, Akamba weebwe omukisa
okwanja ensonga ye, era alagiddwa okutegeeza saabannamateeka nga bwamuwaabidde,
bakomewo mu kooti nga 23 omwezi guno.